Acts 16:19-40

19 aBannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza. 20 bNe babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe 21 cnga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”

22 dEkibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. 23 eBwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri. 24 fOmukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.

25 gAwo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza, 26 hamangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! 27 iOmukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette! 28Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”

29Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana. 30 jAwo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”

31 kNe bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” 32Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 33 lMu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. 34 mOmukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.

35Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” 36 nOmukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”

37 oNaye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”

38 pAbaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. 39 qNe bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. 40 rPawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.

Copyright information for LugEEEE